1 Samuel 20

Dawudi ne Yonasaani

1 aAwo Dawudi n’adduka okuva e Nayosi mu Laama n’agenda eri Yonasaani, n’amubuuza nti, “Nkoze ki? Nazza musango ki? Kibi ki kye nakola ekiyagazisa kitaawo okunzita?” 2Yonasaani n’addamu nti, “Kikafuuwe! Togenda kuttibwa. Laba kitange talina ky’akola, kakibe kinene oba kitono, nga tantegeezezza. Kiki ekyandimuleetedde okukinkisa ekyo? Tekiriiwo.”

3 bNaye Dawudi n’amulayirira ng’ayogera nti, “Kitaawo akimanyi bulungi nti onjagala, era alowooza mu mutima gwe nti, ‘Yonasaani tateekwa kumanya nsonga eyo, kubanga ajja kunakuwala.’ Mukama nga bw’ali omulamu, era naawe ng’oli mujulirwa, ndi wakati mu kufa.”

4Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Buli ky’oyagala nkukolere, nnaakikukolera.”

5 cDawudi n’agamba Yonasaani nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese era nsubirwa okuliira awamu ne kabaka, naye nzikiriza ŋŋende ne kweke mu nnimiro okutuusa ku lunaku olwokusatu akawungeezi nga wayiseewo ennaku bbiri. 6 dKitaawo bw’anambuuza, mugambe nti, ‘Dawudi yansabye, agende e Besirekemu, mu kibuga kye waabwe, kubanga waliwo ssaddaaka eya buli mwaka eneeweebwayo ku lw’ennyumba ye yonna.’ 7 eBw’anaakuddamu nti, ‘Kirungi,’ olwo nno omuweereza wo anaaba mirembe. Naye bw’anaanyiiga, kale onootegeera nti amaliridde okunkola akabi. 8 fNoolwekyo beera wa kisa eri omuweereza wo, kubanga wakola endagaano n’omuweereza wo mu maaso ga Mukama. Naye oba nnina omusango, gw’oba onzita. Lwaki ompaayo eri kitaawo?”

9Yonasaani n’ayogera nti, “Tekiribaawo! Singa nnali ntegedde nga kitange amaliridde okukukola akabi, sandikubuulidde?”

10Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Ani anantegeeza, kitaawo ng’akuzzeemu n’obusungu?”

11Yonasaani n’amugamba nti, “Jjangu tulage mu nnimiro.” Awo bombi ne balaga mu nnimiro.

12Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Mukama, Katonda wa Isirayiri, abeere mujulirwa waffe; nzija kugezaako okumatiza kitange enkya oba okwosa enkya ku ssaawa nga zino. Bw’anaaba nga takuliiko nsonga, kiki ekinandobera okukumanyisa? 13 gNaye kitange bw’anaaba ng’amaliridde okukukola akabi, kale Mukama ankole bw’atyo, n’okusingawo, bwe siikutegeeze ne nkusindika ogende weekweke. Mukama abeere naawe, nga bw’abadde ne kitange. 14Bwe nnaaba omulamu, ondage ekisa kya Mukama ekitakoma, ennaku zonna ez’obulamu bwange, nneme okuttibwa, 15 htokendeezanga ku kisa so tolekangayo kulaga bwesigwa eri ennyumba yange, Mukama ne bw’alizikiriza buli mulabe wa Dawudi ku nsi.”

16 iAwo Yonasaani n’akola endagaano n’ennyumba ya Dawudi ng’agamba nti, “Mukama abonereze abalabe ba Dawudi.” 17 jYonasaani n’alayiza Dawudi nate okukakasa ekirayiro kye, olw’okwagala kwe yamwagala kubanga yamwagala nga bwe yali yeeyagala.

18 kYonasaani n’agamba Dawudi nti, “Enkya mbaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese, naye tunaakusaalirwa, kijja kutegeerekeka nti toliiwo, kubanga ekifo kyo kinaaba kyereere. 19 lOkwosa enkya, obudde nga bunaatera okuziba, genda mu kifo mwe weekweka luli, ebizibu bino bwe byatandika, obeere awali ejjinja Ezeri. 20Nnaalasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, ng’ateeba ssabbaawa. 21N’oluvannyuma nzija kutuma omulenzi nga mugamba nti, ‘Genda onoonye obusaale.’ Bwe naamugamba nti, ‘Laba, obusaale buli ku luuyi gy’oli, buleete,’ kale onojja, kubanga Mukama nga bw’ali omulamu, onoolama, era tewaabeewo kabi. 22 mNaye bwe nnaagamba omulenzi nti, ‘Laba, obusaale buli mu maaso,’ kale onoogenda, kubanga olwo Mukama ng’akugambye ogende. 23 nEra ne ku bigambo bye twayogerako, Mukama abeere naffe ennaku zonna.”

24Awo Dawudi ne yeekweka mu nnimiro. Embaga ey’okujuukirirako omwezi nga gubonese bwe yatuuka, kabaka n’atuula okulya. 25 oN’atuula mu kifo kye ekya bulijjo okumpi n’ekisenge okwolekera Yonasaani. Abuneeri n’atuula okuliraana Sawulo, naye ekifo kya Dawudi kyali kyereere. 26 pSawulo n’atabaako kyayogera ku lunaku olwo, kubanga yalowooza nti, “Waliwo ekituuse ku Dawudi ne kimufuula atali mulongoofu; ddala si mulongoofu.” 27Olunaku olwaddirira, omwezi nga gumaze okuboneka, ekifo kya Dawudi ne kisigala nga kyereere. Awo Sawulo n’abuuza mutabani we Yonasaani nti, “Kiki ekyalobedde mutabani wa Yese okujja ku kijjulo, olunaku lwa jjo newaakubadde leero?”

28 qYonasaani n’addamu nti, “Dawudi yanneegayiridde mukkirize agende e Besirekemu, 29ng’ayogera nti, ‘Nzikiriza ŋŋende kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka ey’okuwaayo mu kibuga, ne muganda wange yandagidde mbeere yo. Kale nno obanga ndabye ekisa mu maaso go, nzikiriza ŋŋende ndabe baganda bange.’ Kyeyavudde tabeerawo ku mmeeza ya kabaka.”

30Awo Sawulo n’annyiigira nnyo Yonasaani, n’amugamba nti, “Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi? 31Mutabani wa Yese ng’akyali mulamu ku nsi, tolinywezebwa ggwe newaakubadde obwakabaka bwo. Kaakano mutumye omundeetere, kubanga ateekwa okufa.”

32 rAwo Yonasaani n’addamu kitaawe Sawulo nti, “Kiki ekimugwanyiza okuttibwa? Akoze ki?” 33 sNaye Sawulo n’amukasuukirira effumu amutte. Awo Yonasaani we yategeerera nga kitaawe amaliridde okutta Dawudi.

34Yonasaani n’asituka ku mmeeza mu busungu obungi, era n’atalya mmere ku lunaku olwokubiri olw’omwezi, kubanga yanakuwalira ekikolwa kya kitaawe eky’obuswavu eri Dawudi.

35Ku makya Yonasaani n’alaga mu nnimiro okusisinkana Dawudi, nga bwe baali balagaanye. Yalina akalenzi ke yagenda nako, 36n’akagamba nti, “Dduka onoonye obusaale bwe nnaalasa.” Akalenzi bwe kaali nga kadduka, Yonasaani n’alasa akasaale mu maaso gaako ne kamusookayo. 37 tAwo akalenzi bwe kaatuuka mu kifo akasaale we kaali kagudde, Yonasaani n’akakoowoola ng’agamba nti, “Akasaale tekali mu maasoko?” 38N’akangula ku ddoboozi, n’amugamba nti, “Yanguwa, genda mangu, tolwawo.” Akalenzi ne kakima akasaale, ne kakomawo eri mukama waako. 39Naye akalenzi ne katabaako kye kategeera. Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya enteekateeka eyo. 40Awo Yonasaani n’akwasa akalenzi ebyokulwanyisa bye, n’akagamba nti, “Genda, obizzeeyo mu kibuga.” 41Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.

42 uAwo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, “Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, ‘Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ ” Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.

Copyright information for LugEEEE